Ndi mujaasi wa musaalaba,
Ngoberera Yesu,
Nyinza ntya okumwegaana,
Nga nswala olw’Erinya Lye?
Chorus
Olutalo bwe luliggwa, Tuliyambala engule!
Tuliyambala engule! Tuliyambala engule!
Olutalo bwe luliggwa, Tuliyambala engule,
Mu Yerusalemi empya,
Tuliyambala, Tuliyambala,
Engule ezimasamasa,
Lutalo bwe luliggwa, Tuliyambala engule,
Mu Yerusalemi empya.
Nze ngenda ntya mu bire eyo
Nga sifubye na nnyo
Ate bannange baafuba
Mu kuyiwa omusaayi?
Sirina balabe bonna?
Siyite mu mataba?
Ensi eno embi eneennyambya etya
Okuntuusa mu ggulu?
Mazima nteekwa okufuba,
Mukama mpa amaanyi;
Nja kulwana era ngume,
Nga nneesiga Yesu.