Amakya amalungi ganindiridde,
Eyo enzigi gye zinaggulwa,
Bwe ndiva mu nnaku eya wano,
Ndiba mu nsi oludda lw’eri.
Chorus
Lumu eyo okufa gye kutatuuka,
Lumu, Yesu yekka Y’amanyi wa era ddi,
Obulamu bw’ensi buliba bukomye,
Ngende mbeere eyo ku lusozi Sayuuni.
Olumu ndiwulira bamalayika bayimba,
Amaanyi ge ntaana gye gatatuuka,
N’ebidde by’eggulu nga bivuga,
Nga abatukuvu bayimba ku maka gaabwe.
Olumu okufuba kwange kulikoma,
Ng’okubuungeeta kwange kuwedde,
N’ebyonooneddwa biriterezebwa,
Era siriddayo na kukaaba.
Olumu ebire ebikwaafu birigyibwaawo,
N’enzikiza y’ennaku nga ekomye,
N’emigugu gy’obulamu nga gigyiddwaawo
Nga olunaku lw’ekiwummulo luzze.