21. OKULWANA WEKULI C (The Fight Is On) C


Okulwana wekuli, ekkondere livuga, nti,
“Mukwate eby’okulwanyisa mwenna,”
Mukama Atukulembedde tuwangule,
N’essanyu ly’abatukuvu lijja.

Chorus
Okulwana wekuli, mmwe eggye Lye,
Maaso ku maaso n’omubi,
Nga buli kya kulwanisa kyaffe,
Tukimwolekezza kati!
Okulwana wekuli temukoowa;
Mubeere n’amaanyi mu Ye,
Katonda bwaba nga Ali ku lwaffe,
Tuliyimba obuwanguzi.

Okulwana weekuli, abalwanyi muzuukuke,
Yakuwa Azze okubawanguza;
Munaanike ekyambalo Ye ky’Abawadde,
Munyweerere, mu Ye ennaku zonna.

Mukama Atukulembedde okuwangula
Ebisuubizo Bye kwe tunyweredde;
Wonna Erinnya Lye linaaweebwa ekitiibwa,
Lulikya era ne tufuna eddembe.