23. NZE NKUTUNUULIDDE Eb (My Faith Looks Up To Thee) E Flat


Nze nkutunuulidde,
N’amaaso g’omwoyo,
Mulokozi;
Ompulire leero
Onnazeko ebibi,
Onfuule omwana wo
Omwesigwa.

Ekisa kyo kimpe
Kindetere amaanyi,
Ag’omwoyo,
Gwe Eyanfiirira,
Onzijjukizenga,
Ekisa Kyo bwe kiri
Ekinkuuma.

Bwe mba nkyatambula,
Mu nsi nneetolooddwa,
Ebibi bingi;
Naye Gwe Onsaasire,
Mu nzikiza muno,
Onjakize lwa kisa
Omusana.

Era ne bwe ndiba
Nga ntuuse okufa,
Tondekanga;
Onkwatenga mu ngalo,
Neme okukankana,
Ontwale ewuwo,
Nga ndokose.