33. OLWAZI OLW’EDDA N’EDDA (Rock Of Ages) B Flat


Olwazi lw’edda n’edda Ggwe,
Kanneekwekenga mu Ggwe,
Leka amazzi n’omusaayi,
Ebyava mu biwundu Byo,
Bibe okujjawo ekibi,
Wamu n’obusungu Bwo.

Yadde nkaaba bulijjo,
N’okufuba nga nfuba,
Byo tebigyawo kibi,
Ggwe, Wekka, Omulokozi;
Ssirina kya kukuwa,
Nnyweza ku musaalaba,

Ennaku nga ziweddeyo,
Mu kaseera ak’okufa;
Bwe ndiva mu nsi muno,
Nkulabe mu ntebe Yo;
Olwazi lw’edda, Olwase;
Ka nneekwekenga mu Ggwe.