Omubaka owa leero yagenda eyo wonna mu nsi,
Emmundu ye nga Ye Bayibuli ng’eri mungalo ze;
N’abuulira abantu ku nsi eri ennungi enssubize;
Yagenda nga ayimba.
Nesigamye, nesigamye,
Situukibwaako kabi konna;
Nesigamye, nesigamye,
Nesigamye ku mikono gye.
Yabuulira ku musango ogujja ogw’omuliro;
N’eggulu eddungi kye kifo eky’abakkiriza.
Nga atambula mu nsozi eyo yawulirwa ayimba
Nga agenda atambula.
Waliwo amaanyi, amaanyi, ag’ekitalo,
Mu musaayi gwa Yesu,
Waliwo amaanyi, amaanyi, ag’ekitalo,
Ku musaalaba gwa Yesu,
Emmundu Ye entalavvu ewanikiddwa eyo ku kisenge;
Ne Bayibuli ye ekaddiye nga eriko enfuufu,
Obubaka bwe yawa ku nsi: “Omusango gye guli.”
Amazima Ge gatambula.
Ekitiibwa, Aleruuya!
Ekitiibwa, Aleruuya!
Ekitiibwa, Aleruuya!
Amazima Ge gatambula.