86. ERIYO EKIFO KU MUSAALABA (Room At The Cross For You) A Flat


Omusaalaba kwe yafiira,
Obwo bwe bwekwekero bwaffe,
N’ekisa eky’obuwa kye kimmatiza nze,
N’ensulo yakyo ngazi ng’enyanja.

Chorus
Olina ekifo ku musaalaba,
Olina ekifo ku musaalaba,
Wadde bangi bazze, ekifo kyo gye kiri,
Yee, gye kiri ku musaalaba.

Wadde bangi baamukkiriza,
Ne baleka ebibi byabwe eby’edda
Ye Omulokozi Alinze okuggulawo enzigi,
Omwonoonyi ayingire nga tebunnayita

Omukono gwa Yesu gwa maanyi,
Era n’okwagala Kwe kungi,
Mu musana oba nkuba, okufiirwa oba
okufuna,
Omusaayi guva e Gologoosa okunaaza ebibi