98. MUKAMA AKOMAWO (Our Lord’s Return To Earth Again) G


Nninda okulaba olunaku lwa Mukama olujja,
Nga Mukama Azze okutwala omugole
We amulinze,
Mpulira essanyu nga nkola, nsaba era
nga nninda,
Kubanga Mukama Akomawo ku nsi..

Chorus
Oh! Mukama Akomawo ku nsi wano,
Yee! Mukama Akomawo ku nsi wano,
Emyaka lukumi, Setaani talitukema nate,
Nga Yesu Akomyewo ku nsi wano

Okudda Kwe kye kiddibwamu eri okukaaba kw’ensi,
Okumumanya kunaajjuza ensi,
nnyanja n’ebbanga;
Anaajjawo endwadde n’omunaku aleme okukaaba,
Nga Omulokozi Akomyeewo kunsi.

Abaagulibwa, yee! Balijja mu Sayuuni n’essanyu,
Era ku lusozi olwo teribaayo na nnaku;
Nga buli omu ajjudde emirembe, mu kwagala okungi
Olwo Yesu Alyoke Akomewo ku nsi.

Ekibi n’ennaku, Okulumwa n’Okufa birikoma
Mu kufuga kwa Yesu emyaka lukumi egy’eddembe;
Ensi yonna ekaabira olunaku olwo olw’eddembe,
Nga Yesu waffe Akomyewo ku nsi.