163. LUMU (One Day) C


Lumu_eggulu nga limutendereza,
Lumu ekibi nga kibunye wonna,
Yesu Yajja n’Azaalibwa embeerera,
N’aba mu bantu, nga nange bwe ndi!

Chorus
Ye Yanjagala; Yaffa Andokole;
Yaziikibwa, kujjawo ebibi;
Yazuukira n’Anfuula ow’eddembe;
Lumu Ajja kudda nga lwa kitiibwa!

Lumu baamutwala e Gologoosa,
Ne bamukomerera ku muti;
Yalumwa nnyo, n’Agaanibwa abantu;
Yetikka ebibi, ye Mununuzi!

Lumu baamuleka yekka mu nnimiro,
Lumu Yawummula, n’Atalumwa;
Bamalayika bakka Okumukuuma,
Ssuubi ly’abagwa, Ye Mulokozi!

Lumu nga entaana tekyamusiba nate,
Lumu n’Ejjinja lyajjibwako;
N’Azuukira, n’Awangula okufa,
Kati Yalinnya, Mukama waffe!

Lumu akagombe kalivuga nga Ajja,
Ekitiibwa Kye kiryaka ku ggulu;
Olunaku, lulireeta abaagalwa;
Omulokozi, Yesu oli wange!