189. NJA KUKUSISINKANA (I’ll Meet You) E Flat


Nja kukusisinkana_enkya,
Okumpi n’olubalama,
Ng’ennaku yonna ekuvuddeko;
Ndiba kumpi ku kibuga ng’enzigi Nzigule,
Nga nkomekkereza eby’ensi eno

Chorus
Nja kukusisinkana_enkya nga nkubuuza
“Oli otya?”
Tutuule awo ku mugga, mu ssanyu
n’okwagala okuggya,
On’ommanya nga bukedde, ku
kamwenyumwenyu,
Nga nkusanze nga bukedde, mu kibuga_eky’ensonda ennya.

Nja kukusisinkana_enkya, mu biseera ebijja,
Mu musaalaba tufune mu engule;
Tewali kuggwaamu maanyi, era teri an’afa,
Mu nsi eyo enjuba gy’etegwira.

Nja kukusisinkana enkya, eby’ensi
nga biwedde,
Ku nguudo z’ekibuga ekya zaabu;
Eyo tubeere wamu mu ssanyu eringi ennyo,
Nga emyaka ne ebiro biwedde.