Ndaba ekifaananyi ky’ensi ey’ennaku,
Bakungaanya ebintu olw’obugagga;
Bafuba okufuna essanyu n’emirembe,
Tebalaba nga ebyo mpewo, baakuzikirira.
Chorus
Nkomerero yino, esembedde,
Omugole_akungaana;
ensi_eremeddwa;
Isiraeri azuukuka,
Amawanga gasasika;
Nnabbi yayigiriza nti_enkomerero etuuse.
Kino kye kiseera! Nnabbi kye yagamba,
Malayika Yajja n’okuleekaana
Olusozi lwanyenya Eddoboozi Lye nga Lyogera,
“Teri kiseera,” nga liwulirwa lityo.
Olowoozezza ku bubaka obusemba?
Olowoozezza ku Malaki4?
Okubikulilwa 10:7 ne Luka 17
Birangirira obubaka_ ennaku zonna.