220. ATENDEREZEBWE OYO (Blest Be The Tie That Binds) F


Atenderezebwe Oyo
Atusiba mu kwagala;
Okussa ekimu okw’aboluganda,
Kulinga okwa waggulu.

Mu maaso ga Kitaffe,
Tutwala okusaba kwaffe,
Nga bye tuyitamu n’ebirubirirwa,
Eri buli_omu bye bimu.

Tugabana ebizibu,
Era ne tubigumira;
Emirundi emingi Olw’obusaasizi,
Tukaaba ku lw’omulala.

Bwe twawukana ffe,
Tulumwa mu mwoyo;
Naye mu mmeeme tuli bumu,
Era tulirabagana.