222. TWAALANGA ERINNYA LYA YESU (TAKE THE NAME OF JESUS) A Flat


Twalanga Erinnya lya Yesu,
Ayi Omuntu ow’ennaku;
Lirina okukuwonya byonna,
Beera nalyo bulijjo.

CHORUS
Erinnya, lya Yesu!
Lireeta essanyu ku nsi;
Erinnya, lya Yesu!
Lyagalibwa mu gulu.

Weesige erinnya lya Yesu,
Ebyambika bwe bijja,
N’okukemebwa nga kuzze,
Lyogere mu kusaba.

Erinnya eryo nga lya muwendo!
Libugaanya n’essanyu,
Bw’Atukwata n’omukono,
N’Atuwa ennyimba Ze empya.

Bwe tulituuka mu ggulu,
Tulifukaamirira,
Kabaka waffe_ Oyo ne_engule,
Tuligimutiikkira.