1. KKIRIZA GGWE (ONLY BELIEVE) C


Temutya mmwe Ekisibo ekitono,
kubanga Yesu ku lwaffe yafa, n’Azukira ate;
Amaanyi gonna ag’ensi, n’ag’omuggulu,
Gamuweereddwa, olw’ekisibo Kye.

Chorus
Kkiriza ggwe, kkiriza ggwe,
Byonna biyinzika, bw’okkiriza;
Kkiriza ggwe, kkiriza ggwe,
Byonna biyinzika bw’okkiriza.
(Mukama Nzikiriza …..)
(Mukama nfuna ……)
(Yesu ali wano ……)

Temutya mmwe Ekisibo ekitono, Ye Atusooseeyo,
Omusumba wo Alonda, Ekkubo ly’on’okwata;
Amazzi agakaawa Anagawoomereza,
Yanywa ogukaawa e Gesusemane.

Temutya mmwe Ekisibo ekitono, byonna ebinajja,
Ayingira ebisenge, “Ng’enzigi nzigale”
Tatulekerera, Era tavaawo,
Twesige okubaawo Kwe obudde bwonna.