Nga ntambula mu kkubo, nga ngenda nnyimba;
Mbalaga omusaalaba, Okwayiika omusaayi,
Obusaale bunfumita, bunnumya emmeme;
Mukama nga Antwala Ampanguzisa.
Chorus
Njagala okumulaba, mu maaso Ge Ye,
Nnyimbenga ku kisa Kye ekyandokola;
Mu nguudo ez’ekitiibwa, naayimbanga nnyo
Sifaayo, ngenda eka nsanyuke naye.
Nga nkola emirimu Gye, Obudde buziba,
Naye naamwekwatako Ampe ekitangaala;
Obukodyo bwa ssetaani bunteganya nnyo;
Mukama Antegula, emitego gyonna,
Nga ndi mu biwonvu, eno, Ye mulengera;
Nga Omulokozi wange, Anwanirira;
Omukono gugoloddwa mu kiwonvu eno;
Gumbeera, mu kkubo, bwemba ntambula.
Emiyaga gisutuka okuva mu nnyanja,
Era Mukama Ankuuma mu miyaga_egyo,
Nandaga bwe nnaavayo mu nsi eno wansi,
Ye Mukwano gwange, Gwe njagala ennyo.