Njigiriza, okulindirira ku maviivi,
Okutuusa mu ssaawa entuufu
lw’On’onziramu;
Neme okufa ku balala kye bakola,
Naye okulindirira mu kusaba Onziremu.
Chorus
Abalindirira Mukama, bajja okuzibwamu amaanyi;
Balituumbiira n’ebiwawaatiro ng’empungu
Banadduka nga tebakoowa, batambule nga tebaggwaamu maanyi,
Njigiriza, Mukama okulinda.
Njigiriza okulindirira nga njaayaana,
Nyamba okkakkanye amalala mpite Erinnya lyo
Nyongera okukkiriza, n’amaaso gabeere ku ggwe,
Nyamba ku nsi mbeere nga bw’Oyagala.