Nkebera Yesu, omutima gwange;
Ngezesa era Okebere ebirowoozo byange;
Laba oba nnina ekibi kyonna mu nze;
Okinnaazeko, era nfune eddembe.
Nkusuuta, Yesu, Olw’okuntukuza;
Kakasa ekigambo kyo, era ontukuze,
Leeta omuliro, nsonyi zange ziggwe,
Kye nsaba Ompe kwe kutenda Erinnya Lyo.
Twala obulamu, bwange nfuuke owuwo;
Jjuza omutima gwange, n’okwagala Kwo;
Jjawo eby’ensi amalala ne byonna;
Nneewayo leero gyoli tuula mu nze.
Mwoyo Mutukuvu, amaanyi gava gyoli;
Nziza obuggya, leero, era onkozese;
Ekigambo Kyo kimpa bye nneetaaga,
Mukama leero nsaba Ompe omukisa.