Abakristaayo abalwanyi,
Twongere tulwane,
Ng’omusaalaba Gwe Gukulembedde;
Kristo Ayolekedde, Eri omulabe,
Tugende tulwane, Ne bendera Ye!
Chorus
Abakristaayo abalwanyi!
Twongere tulwane
Ng’omusaalaba Gwe
Gukulembedde.
Nga eggye ery’amaanyi
Ekkanisa Ye etambula;
Aboluganda tutambulira
Abatukuvu we baalinnya;
Tetwawukanye, Ffenna tuli omu.
Essuubi n’enjigiriza emu
Okwagala kumu.
Engule, Nnamulondo obwakabaka,
Byonna bisituka, ne biggwaawo;
Ekkanisa ya Yesu Tejjulukuka;
Geyeena tesobola Okugiwakanya.
Eri Akabonero, K’obuwanguzi
Egye lya Setaani, Lidduka mbiro
Olwo Abakristaayo, Abalwanyi;
Tuliwangula, Omulabe
Ne tumugoba.
Emisingi gya Geyeena; Gikankana nnyo,
Okulekaana kw’okutendereza!
Kale ab’oluganda, Muleekane nnyo
Kuleekaana kwammwe,
Ennyimba ziyimbibwe.
Mweyongere Mmwe abantu mu kusanyuka
Mwetabe mu kuyimba okw’obuwanguzi
Ettendo, n’ekitiibwa,
Bibe eri Yesu;
Ffe ka tumutendenga
Emirembe gyonna.