26. NGA NTUUSE MU KIBUGA EYO Ab (When I Reach That City) A Flat


Ku lusozi waliyo ekibuga,
N’ensi kigijjuza_ekitiibwa,
Ndiraba obulungi bwakyo ku makya gali,
Nga ntuuse mu kibuga eyo.

Chorus
Ai kibuga ku lusozi_eyo,
Ndi mutambuze akwagala;
Ndibeera mu ggwe luberera,
Nga ntuuse mu kibuga eyo.

Bampise_okugenda mu kibuga,
Ekigambo kigamba, “Buli_ayagala”,
Waliyo ennyumba yange ennindiridde,
Nga ntuuse mu kibugaeyo.

Okufa tekuliiyo mu kibuga,
Obunnyogovu wamu n’empewo,
Nja kuyingira mbereenga omwo,
Nga ntuuse mu kibuga eyo.

Ka mbere wano okutuusa lw’Alidda,
Nga nkola ebyo Ye byayagala,
Alingamba nti “Weebale nnyo”, eyo,
Nga ntuuse mu kibuga eyo.