40. TEKIIBE KYA KITALO (Won’t It Be Wonderful There?) B Flat


Bwe tuliyingira eyo n’omulokozi,
Tekiibe kya kitalo?
Ng’emitawaana gyonna egy’ensi giwedde,
Tekiibe kya kitalo?

Chorus
Tekiibe kya kitalo,
Ng’ebizibu biwedde?
Nga tuyimba nga tuli mu ssanyu lingi,
Tekiibe kya kitalo?
(Kijja kuba Kya Kitalo…….)

Okutambula n’okwogera ne Kristo,
Tekiibe kya kitalo?
Tutende, twagale Oyo Atasingwa,
Tekiibe kya kitalo?

Eyo emiyaga gye gitatuuka ate,
Tekiibe kya kitalo?
N’obukakafu nti Ye Anatukuumanga,
Tekiibe kya kitalo?