Tulikungana ku mugga,
Awali Bamalayika;
Gukulukuta gugenda,
Kumpi ne nnamulondo Ye?
Chorus
Tulikungana ku mugga,
Omugga omulungi, mulungi;
Tulikungana ku mugga,
Nga guva mu nnamulondo Ye.
Awo mu maaso g’omugga,
Awali Kabaka waffe;
Tewaliba nnaku yonna,
Mu kitiibwa kya nnamulondo Ye.
Ku lubalama lw’omugga,
Ogumasamasa ennyo;
Tulitambula, tusinze,
Olunaku lwonna_olw’essanyu.
Naye nga tetunatuuka,
Tusse wansi emigugu;
Ekisa kiritununula,
Tufune engule n’ekyambalo.
Kamwenyumwenyu k’omugga,
Endabirwamu y’amaaso Ge;
Abatukuvu abatalifa,
Baliyimba eyo ku kisa Kye.
Awo ku mugga omulungi,
Ngendo zaffe nga ziwedde,
Tuliba n’essanyu lingi,
N’ennyimba ez’emirembe.