69. NZIBULA AMAASO NDABE (Open My Eyes, That I May See) A Flat


Nzibula amaaso ndabe
Amazima g’Ontegekedde;
Mpa ekisumuluzo mu ngalo
Ekinansumululanga.

Chorus
Mpola nze nkulindiridde,
Ndabe ky’Oyagala nkole;
Nzibula amaaso, Mmulisa,
Mwoyo Mutukuvu.

Ggulawo amatu mpulire, Amaloboozi ag’amazima;
Bwe mba mpuliriza enjiri,
Ekibi kyonna kiggweewo.

Njasamya emimwa njogere,
Ku mazima ga Yesu wonna;
Ggula omutima, Ompe okwagala,
Nkugabane n’abaana Bo.