95. ETONNYA OMUSAAYI (It’s Dripping With Blood) F


Eyasooka okufa ku lw’Omwoyo yali
Yokaana omubatiza, yafa masajja;
Yesu Ye Yaddako, n’Akomererwa,
Yayigiriza nti Mwoyo Alokola.

Chorus
Etonnya omusaayi, Ye, etonnya omusaayi,
Enjiri eno ey’Omwoyo etonnya omusaayi,
Ogw’Abatume abafiirira amazima
Enjiri eno ey’Omwoyo etonnya omusaayi.

Petero ne Pawulo, wamu ne Yokaana,
Baawaayo obulamu enjiri eno ebune;
Baayiwa omusaayi, nga ba Nabbi ab’edda,,
Enjiri ya Yesu, eryoke ebuulirwe.

Ne Sitefano baamukuba amayinja,
Yavumirira ekibi, n’abanyiiza nnyo;
Yafiira mu Mwoyo, era n’aguwaayo,
N’agenda yeegatte, ku balala eyo.

Emmeeme ezimu zigamba nti “Aludde”,
Mukama okubonereza abo abaasobya;
Eriyo bangi abajja okuwaayo obulamu
Olw’enjiri eno ey’Omwoyo etonnya omusaayi