Bwe ndowooza omusaalaba,
Omulangira kwe Yafiira,
Ne nfiirwa eby’ensi byonna,
Ne nkyawa amalala gange.
Mukama neme okwewaana
N’ebinkema ebitalimu,
Okugyako mu kufa Kwo
Ggwe Kristo Katonda wange,
Olabye okuva ku Mutwe,
Ngalo wamu n’ebigere,
Kwagala, nnaku biyiika
Ng’Aliko engule ey’amaggwa.
Singa mbadde n’ensi zonna,
Ne nziwaayo Yesu gy’Oli
Zonna tezandisasudde
Ebbanja lyange eryenkanawo.
Okwagala kw’ObwaKatonda,
Kwetaaga emeeme yange,
Obulamu n’ebyange byonna,
Nkuwereze, nkusanyuse.