Twesunga nnyo okujja Kwe, mu bire by’eggulu,
Nga adda ku nsi okutwala_abo ababe;
Ffenna tweteketeeke_obubaka butugambye,
Tugenda kufuga na Ye.
Chorus
N’essanyu tubuulire obubaka bw’okujja Kwe,
Ajja mu kitiibwa, buulira bonna;
Muzuukuke abatukuvu, lwaki mwebaka ng’Ajja,
Mwetegekere okuyita Kwe.
Twesuunga ekitiibwa ekirinze abeesigwa,
Abawanguzi abanawangula entalo;
Mufube nnyo n’amaanyi, omugabo bwe bulamu,
Eri buli awangula ekibi.
Tusabira nnyo okujja kw’Omulokozi Oyo,
Eyasuubiza obulamu eri abamwesiga;
Okujja Kwe kuli kumpi, obubaka Bwe
buweebwa,
Maaso ku maaso tunaamulaba.
Tulaba obubonero, bw’okujja kwa Yesu,
Laba omutiini leero gutojjera;
Enjiri y’obwakabaka ebunye amawanga;
Nti enkomerero yiino etuuse.