133. BWE YASSA OMUKONO GWE (When He Reached Down) C


Lumu emmeeme yange yali nga ewabye
Nga mbi tekyalimu na nsa;
Yesu n’Ampa eddembe, essanyu n’okwagala
Bwe Yassa_Omukono Gwe_ankwateko.

Chorus
Bwe Yassa_Omukono Gwe_ankwateko,
Bwe Yassa_Omukono Gwe_ankwateko,
Nze nnali nga mbuze, nga sirina Yesu,
Bwe Yassa_Omukono Gwe_ankwateko.

Nga sirina suubi, lwe Yajja gye ndi eyo,
N”Andaga nga nnaasumululwa;
Nnanyimusa era n’ampa ekitiibwa ekijjuvu,
Bwe Yassa_Omukono Gwe_ankwateko.

Okuva lw’Ali owange omutima gusanyuke,
Nva mu muyaga ngenda gy’Ali,
Ndi ku Mukono Gwe, sirina na kabi,
Bwe Yassa_Omukono Gwe_ankwateko.

Bwe Yampa eddembe, essanyu teriggwaawo,
Yesu nkuwa obulamu bwange,
Nkulembera n’Omukono Gwo, mbeere naawe bulijjo,
Kuba Wassa Omukono Gwo onkwateko.