Ennaku ziba nga_empanvu, n’ebizibu bingi;
Tukemebwa okwemulugunya, n’okunakuwala;
Naye An’ajja mangu okutwala_omugole,
Amaziga galikoma, mu butaggwaawo Bwe;
Chorus
Kirimala byonna, okulaba Yesu,
Ebigezo bya wano, temuliba kantu;
Okumutunulako, kulijjawo ennaku,
Fuba omale olugendo, tumulabe.
Eggulu nga likutte, nga teri musana;
Tuteganyizibwa, nga teri atuyamba,
Naye Omu Ali mu ggulu, Atulabirira,
Leka Yesu amale ebizibu, musabe busabi.
Ebizibu bya wano, binaatera okuggwa;
Tuve mu nsi eno, tutuuke mu ggulu;
Tugabane essanyu n’amaka n’engule;
Omukemi talibaayo era n’emigugu.