149. TEWALI KUBUBWA (No Disappointmet) E Flat


Tewali kusubwa mu ggulu,
Bukoowu, nnaku, kulumwa;
Teri mitima gimenyese,
N’oluyimba_olutanyuma.
Ebire_ebiri wano mu nsi eno
Tebiribaayo mu bbanga,
Wonna musana era ssanyu,
Tewalibaayo na zziga.

Chorus
Ngenda mu kibuga_ekirungi,
Ekitegekeddwa abalonde;
Abetoolodde entebe enjeru,
Bayimba “Ekitiibwa!” gyali;
Olumu njagala okugenda eyo,
Ndabe ebirungi ebiriyo, Essanyu lye ndiba nalyo nga Mulabyeko,
Mu kibuga ekirungi ekya Zaabu!

Tetulisasulira Nnyumba,
Newaankubadde_emisolo;
Ebyambalo byaffe nga bigumu,
Nga tebisiwuuka, bippya.
Wadde okulumwa enjala n’enyonta,
Awatali na kwavuwala,
Wabula okufuna eby’eggulu,
Ebinaweebwa abatukuvu.

Tewaabe na kukungubaga,
Wadde okufiirwa kwonna;
N’entaana era teziribaayo,
Era eyo nga tetukyafa.
Abakadde balidda buto,
Mangu nga tuwanyisiddwa;
Tuliba mu kifaananyi Kye,
Nga twaka okusinga enjuba.
Abalina engoye ez’embaga baliba awo
Waggulu eyo mu bbanga.