Mu lugendo lwaffe wano tusanga ebizibu;
Oluusi tusanga amaggwa, oluusi musaalaba.
Nga tugenda e Gologoosa tulumwa bubi nnyo
Naye ekiri mu nzigi era kya muwendo mungi.
Chorus
Munda w’enzigi ne Yesu,
Tuliyiga bingi,
Tuwebwe ennanga ya zaabu,
Ya nkoba lukumi;
Tuyimbe, tubuuke, tuzine,
Amaziga gakome
Essanyu ly’okutuuka eka liriba lya myaka mutwalo.
Tulaba ebisiikirize n’ekiseera kijja,
Yesu Mukama lw’Anajja mangu
ng’ekimyanso
Wadde tulinda, tulumwa, tuliyimba nate,
Kuba okulingizaako eyo kulimala byonna.
Yesu alokodde n’omusaayi Gwe gutukuza,
Abantu b’Ayita erinnya Lye, ye Mugole We,
Wadde wano banyoomembwa,
Mukama Alitwala
Abalonde be munda, era kirimala byonna.