155. EMIREMBE MU KIWONVU (Peace In The Valley) E Flat


Wadde ndi mukoowu, nnina okweyongerayo;
Okutuusa Yesu lw’An’ajja okuntwala, Yee Ssebo;
Ekitangaala ky’amakya, gwe mwana gw’Endiga;
N’ekiro kiringa emisana, yee Ssebo.

Chorus
Waliba eddembe mu kiwonvu lumu ku lwange
Ebeeyo eddembe mu kiwonvu ku lwange, Yesu nsaba,
Teriba nnaku, kulumwa, na mitawaana bye ndiraba;
Waliba eddembe mu kiwonvu ku lwange.

Ebimuli birimulisa, n’omuddo nga gwa kiragala;
N’eggulu nga ttangavu ng’era lya ddembe, Yee sebo;
N’enjuba eriba eyaka, mu kifo ekyo
ekirootwa;
N’ebire nabyo tebibeerayo, Yee Ssebo.

Ne ddubu nga teefu, n’omusege bwe gutyo;
Empologoma yeebake n’Endiga, Yee Ssebo;
N’ensolo zo mu nsiko, zikulemberwe akaana;
Ndikyuuka ne nva mu mubiri guno, Yee Ssebo.