Ensi ye Nviinyo n’emmere,
N’eby’obugagga nga byange;
Awali essanyu eringi ennyo,
N’ekiro nga kiweddewo
Chorus
Ensi nnungi, nga nnungi nnyo,
Nyimiridde ku lusozi,
Nnengera ng’osusse ennyanja,
Amaka gye gantegekeddwa,
N’ekitiibwa ku lubalama.
Eggulu maka gange ddala!
Mulokozi Abeera nange,
Ne tuba n’okussa ekimu;
N’Ankwata n’omukono Gwe,
Ku ntandikwa eno ey’eggulu.
Akawoowo_eyo mu mpewo
Kava mu miti emito,
N’ebimuli ebitawotoka,
Y’eri Omugga ogw’Obulamu.
Empewo ennungi ejja gye ndi,
N’amaloboozi g’eggulu,
Bamalayika mu byeru,
Ne beegatta mu luyimba.