Olunaku lujja nga tetukyalumwa mitwe,
Nga teri bire, na maziga mu maaso
Nga ddembe n’essanyu ku lubalama eyo,
Nga olunaku olwo luliba lwa ssanyu.
Chorus
Luliba lunaku lwa ssanyu nga ndabye Yesu,
Ne mmulaba mu maaso, eyandokola Olw’ekisa Kye;
Nga Ankutte ku mukono, n’Antuusa mu nsi ensuubize
Nga Olunaku olwo luliba lwa ssanyu.
Teribaayo na nnaku, wadde oba emigugu
Teri ndwadde, kulumwa, wadde okwawukana;
Emirembe gyonna n’abeera n’Oyo Eyanfiirira
Nga olunaku olwo luliba lwa ssanyu.