218. ATONDA MUKULU (How Great Is Our God!) F


Bwe ndowooza emirimu gya Katonda,
Omwezi n’emunyeenye, n’ekkubo lye Yakwata,
Endiga n’ente ensolo, z’omu nsiko,
Bino ebyewuunyo bindaga nga Waali.

Chorus
Katonda Mukulu! N’Ekigambo Kye!
Ye mukulu Asinga bonna bonna.
Yaziyiza amazzi ku Nnyanja Emyuufu,
N’Agamba nti “Nja kubakulembera, Munneesige”

Yakozesa nabbi mu ngeri nnyingi,
Okutulaga obukulu Bwe, mu nnaku zaffe,
Takyuka, era Abeera bumu,
Musinze, Musuute oyagale erinnya Lye.