Bwe tukemebwa oluusi twewuunya,
Lwaki kiba kityo bulijjo,
Bannaffe abamu bo bwe basobya,
Tebabonaabona n’akamu.
Chorus
Tulimanya edda lwaki bwe kityo,
Tulimanya era ne tutegeera,
Owange, sanyuka, beera mwesimbu,
Onokitegeera mpola mpola.
Okufa nga kututte ab’emikwano,
Amaka gaffe nga gawubaala;
Ne twewuunya lwaki abalala,
Batutumufu nga ate babi.
Beera mwesigwa Okutuusa okufa,
Ebula ennaku ntonotono;
Okulumwa eno tekiibe kikulu,
Nga tuyingira mu luggi Lwe.
Bwe tulimulaba mu kitiibwa,
Nga Ajja okuva mu ggulu Ewuwe,
Tusisinkane na Ye mu nnyumba,
On’okitegeera mpola mpola.