Tuseeyeeya ennaku zino,
Tetuli ba wano;
Ebire ebikwafu bikunta
Bireeta omusana.
Kale, tufube nnyo naffe,
Ffe tetuli ffekka;
Eryato ly’obulamu lijja,
Okututwala eka.
Chorus
Ssanyuka nnyo, ssanyuka nnyo,
Ebikemo biriggwa,
Ab’emikwano tuli balaba
Eyo ku lubalama.
Tuli bagenyi, batambuze,
Tunoonya ekibuga,
Eryato ly’obulamu lijja,
Okututwala eka.
Setaani oluusi ankema,
Nti essubi no teri,
Okutambula ng’okristaayo,
Mu linya lya Yesu;
Naye Mukama Ye agamba,
“Nze nja kukuyamba,
Era ggwe bw’ononesiga
Naakutuusa ewange.
Eryato ly’obulamu lijja,
Ndaba n’okukkiriza,
Nga lijja eyo mu mazzi,
Okuwonya ggwe nange,
Tutuuke eyo ku mwalo,
Wamu n’abagalwa,
“Wetegeke” omugoba agamba,
“Laba, liryo lituuse.”
Essawa etuuse okulinya,
Nga bwe liyitawo
Bw’oyimirira okulinda ennyo
Ojja kuzikirira;
Buli omu asasuliddwa,
Omugoba abayita,
Mulinnye eryato ly’obulamu,
Linabatuusa eka.